Paasita Bujingo ayanise Dr. Sserwadda
Added 21st February 2017
ALOYZIOUS Bugingo owa House of Prayer Ministries ayongedde okulumba Dr. Joseph Serwadda nti kaweefube gwe yalangiridde okulwanyisa Bannabbi ab’obulimba agenderera kumufunamu.
Yawadde ekyokulabirako nti Dr. Sserwadda amadiini ge yavaamu n’agavumirira ate kati g’akitiza nago era nga yeegatta dda ku mukago ogugagatta ogwa Inter Religious Council of Uganda(IRCU).
Yasinzidde mu kusaba ku Ssande n’asimbuliza mu engero 14:14 -15 ekigambo kya Mukama ekirabula abadda emabega nti oyo adda emabega gy’ava atta ekkubo lye.
Yagenze mu maaso n’ategeeza nti Lukka 9:62 ‘omuntu akwata ekyuma ekirima n’atunula emabega tasaanidde kuyingira Bwakabaka bwa Katonda.
Omutume Sserwadda owa Victory Christian Centre mu Ndeeba yategeezezza Bukedde ku Ssande nti agguddewo olutalo ku Bannabbi aboobulimba.
Yagambye nti abamu abamuvuma n’okumuwalampa bakyali bato bwe banaakula bajja kukkakkana.
Bugingo yagambye nti abasajja abakulu abalowooza nti abawalampa balimba kubanga omulokole tasaanidde kuba na kifo mu mukago ogugatta amadiini, obulokole tebulina Kalidinaali wadde ‘bisopu’ kuba Yesu ye Mukama waabwe era abeera mu ggulu ne ku nsi buli lunaku.
“Abajja mu IRCU ne babagamba nti baliyo ku lw’Abalokole baba baliyo ku lwabwe tebaliiyo ku lwaffe” Bugingo bwe yalabudde n’agamba nti bw’owulira bakugambye nti tosaanidde mu Bwakabaka bwa Katonda kitegeeza nti oli mmemba omukukuutivu ewa Sitaani.
Yakyukidde abagoberezi be n’agamba nti, olwaleero nsaba mbajjukize Bayibuli gye baatusomesa ate naawe gwe balimba nti tulina gwe tuwalana oba gwe tuwalampa soma bino.
Ezekeeri 33:8 – 9 egamba nti, ‘Omuntu omubi alifiira mu bubi era omusaayi gwe Katonda aliguvunaana’.
Yayongeddeko nti ekkanisa y’Abalokole teyalingamu kwetikka bugalubindi, kwetikka bikufiira n’okwambala buganduula.
Omubi bw’otamulabula, omusaayi gwe gubeera ku mukono gwo, bw’olabula omubi n’alemwa okuva mu bubi alifiira mu butali butuukirivu bwe.
Yatumye abagoberezi be nti oyo awuliziganya nabo abagambe nti ye (Bugingo) abaagala era tewali muntu mulala abaagala nga ye ky’ova olaba abajjukiza bayibuli ky’egamba. Yayongedde okukiggumiza nti buli Katonda lw’anyiiga ayimusaayo omuntu omunafu agambe ku balala.
“Abasajja abaakwatanga bendera okuvumirira eddiini endala ne bakuba zikuluseedi nga bwe baali e Bwaise amasasi ne gavuga, sitaani yabanywamu dda omwoyo bali wuwe kati gye batudde” Bugingo bwe yaggumizza.
Bw’obeera oyagala okwogera ku Bannabbi b’obulimba sooka weenenye ggwe wennyini era nga tonnaba kulumbagana bannabbi sooka osabe Mukama akuwe oluwalo olw’okutuukiriza.
Toyinza kuba ng’osaabaanye obusa ate n’oyagala onaaze abalala. Abagoberezi nga bwe bamukubira engalo ez’oluleekereeke, yabategeezezza nti Katonda yamuyamba n’atalimba ng’akyali mwavu.
Yabakyukidde n’agamba nti, Oyo agamba nti si mugagga abeera musiru kubanga obugagga obubwe teyabusikira.
Yagambye nti abantu baamwesiga ne bamukwasa obukadde bw’ensimbi nga bagula ekifo we basabira kati e Kikoni era teyazibuza wabula waliwo abatudde ku ttaka eryali erya bamulekwa nga baalyekomya.
Siriwagira bannabbi ba bulimba, naye ate nja kussa ekitiibwa mu Nabbi w’obulimba anyweredde gy’ali n’ayogera ku muntu ali aga naaga.
Owulira ayogera ku Bannabbi b’obulimba n’olowooza nti abadde musibe kati bamusumuludde. Abantu abo bambadde ebyambalo bibiri, munda misege ku ngulu bambadde eddiba ly’endiga. Nfuna abantu abandabula buli kiseera nti abantu abo bajja kukutta, bayinza okutta omusiru naye nze!
Tebasobola era tebalina busobozi obwo obunzita. Ani asoobola okusigaza amaka ne bwe mbeera nga nfudde birala. Kankiddemu ne nfa, amayumba gaabwe gakoonebwa abaana baabwe battibwa mbategeeza tewali ayinza kwetantala kunzita.
Yakyukidde aba IRCU nti Bannaddiini bakimanyi nti bali nabo nga bannanfuusi kubanga baategeka kuluseedi yali awo Bwaise ne bakubawo bbomu abantu abamu ne bafa bo ne bavaawo nga balamu naye Katonda eyabataasa baamwefuulira dda.
“Owulira nga babawaana babayita taata, bannage ffe tulina Kitaffe omu Yesu. Abaana bwe bakulema awaka otandika okuyisa amateeka okubalagira nti mumpite taata.
Leka sseruganda kola by’olina okukola abaana bajja kukuyita ekitiibwa kyo,” Bwatyo bwe yalabudde.
Nze saalokola kufuna mmotoka, ssaalokoka kufuna byabugagga. Nja kulwanagana na buli muntu agamba nti atunda Yesu ng’amba nti oli mbwa, Katonda wabwereere tatundibwa.
Yagambye nti bwe bawulidde nti IRCU egaba eza Global Fund okudduukirira aba siriimu ne badduka nazo bazinone. Bwe balyenenya tujja kujaganya, bangi bandibadde beenenya naye balowoozaamu ne bagamba nti Kakanisaki akatugamba, Kasumba ki akatugamba.
Ojja kuwulira nga bakugamba nti bugalubindi komawo weenenye kye wali obuulira ge mazima naye wabula.
Abayimiridde ng’okugulu okumu kuli mu IRCU oli aga naaga ogenda kuyulika tosobola kuba eri ng’oli neeno komawo.
Yagambye nti kituufu mu Balokole mulimu abafere bangi kubanga mulimu abeeyiba Babisopu era Serwadda bw’abeera ayagala okubazuula asooke agende e Lubaga oba Namirembe akebere emitendera omuntu mw’ayita okutuuka ku ddaala lya ‘bisopu’ kubanga abafere bangi naye buli awali ‘dupulikeeti’ wabeerawo ‘oligino’
Yagambye nti ebicupuli by’Abasumba bingi mu Balokole naye tebigaana bulokole kugenda mu maaso.
Abantu bajja kusigala nga boogera nga bwe baamwogerangako nti alina engatto eziraga ebigere nti zeezimuwa amaanyi kyokka bwe yali ku Bukedde TV ku pulogulaamu kyogereko ne wabeerawo abakimubuuza bwe yabasaba aziggyemu bamuleetere z’abeera ayamba ng’addayo kyabalema nga kiraga nti bye boogera te babyekakkasa.