Abasumba balumbye Bujingo lwa kulaga ssente ze yakuηηaanyizza n'azirangirira mu lujjudde
By Ahmed Mukiibi
Added 11th January 2017
ABASUMBA b'abalokole batadde akaka ku mbalirira ya musumba munnaabwe owa House of Prayer Ministries, Aloysius Bujingo gye yafulumizza eya ssente ze yakuη− ηaanyizza mu kusaba okumalako omwaka kwe yategese ku kkanisa ye e Makerere.
Ku Ssande mu kusaba kwe yategese okwasoose mu mwaka 2017 mu kifo kye awali ekkanisa kye yatuuma Canaan, yawadde embalirira ya ssente ze baakuηηaanya okuva ku kinusu ekya 50/- okutuuka ku kapapula ak'e 50,000/- ne ssente z'amawanga amalala omuli ddoola ne pawundi n'asoomooza basumba banne nabo bwe baba beerufu, balage eyaabwe!
Kyokka mu kifo ky'okuwa embalirira yaabwe, abasumba okuli David Kiganda, Martin David Ssebuguzi, Joseph Sserwadda, batadde akaka nga bagamba nti bw’alaga ennyingiza, alage ne akawunti kw’aziteeka n'abagoberezi be yaziggyeemu abalage abantu abateeka emikono ku akawunti eyo mu kuggyayo ssente.
Kiganda okusaba yakutegese Nakivubo mu kisaawe, Sserwadda yakutegese Namboole, Bujingo yabadde ku kkanisa ye e Makerere, Ssebuguzi yabadde ku lusozi e Sseguku, Kayanja yategese ku kkanisa ye e Lubaga, Kakande naye yategese ku bbiri, Jackson Ssenyonga yategese Kololo n'abalala nga Bro. Ronnie Makabayi baategese ku kkanisa zaabwe.
Bujingo yategeezezza nti, ebinusu yakuηηaanyizza 13,760,300/- ate ez'empapula zaabadde 197,550,000/- zonna awamu omugatte gwa 211,256,300/- era bw’atyo n’agamba nti kino yakikoze okulaga abagoberezi ssente zaabwe ze basonda ne bye zirina okukola.
Kyokka Kiganda amwambalidde n’ategeeza nti, “Olaba omwana awaka yeegaana nti sinnabba ku nva nga tewali amubuuzizza, ggwe omuzadde omanya bumanya nti omwana oyo yakutte mu nva.”
Yagambye nti, Bujingo si ye yatandikawo obulokole era bino abikola kuwuddiisa bantu. "Eryo ddalu lya muntu omu tesobola kufuuka nkola ya buli muntu. Klezia yasoloozezza, Ssaabasumba oba Kalidinaali yavuddeyo okulaga embalirira? Emizikiti gyabadde n'okusaala, waliwo eyalaze embalirira, ekyo nkiyita kwagala kwemulisa mu bitaliimu." Kiganda bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti, "Ennyingiza Bujingo agiwadde ne bw’anaabeera agenda okuggyayo ssente ku akawunti okugula emmotoka ez'ebbeeyi, abagoberezi anaabagamba nti nzigyeyo obukadde 800 ηηenda kugula Hammer?"
Yagambye nti akawunti Bujingo kw’ateeka ssente yiye era tekuli mugoberezi yenna amuteerako mukono okuggyayo ssente. Abikola na mukyala we n’omwana we b’alinako obuyinza obw'enkomeredde b’asobola okuduumira nti mukole kino ne bakikola. "Namirembe yategese okusaba, Ntagali yawadde omuwendo gwa ssente ze yasoloozezza?
Ye ku akawunti kw’aziteeka mukyala we na mwana be bateekako emikono? Bujingo aleme kuwuddiisa bantu." Kiganda bwe yategeezezza.
Martin David Ssebuguzi eyayawukanye ku Bujingo yagambye nti, ye yabadde ku lusozi gye yasabidde era baakuηηaanyizza 44,400/- era ezo baazeeyambisizza okusasula abaabawadde obukuumi.
Yagambye nti, buli muntu afuna okuyitibwa kukwe era ye tali mu kuvuganya na muntu yenna ku nsonga yonna. "Sajja kukola ssente, nze Mukama y’annuηηamya okubuulira ekigambo kye era y'ensonga lwaki saakuηηaanyizza ssente ku bagoberezi." Ssebuguzi bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti, ye tagenda kukola nga Bujingo bw’akola kubanga Katonda ekyo si ky’amulagira okukola.
Dr. Joseph Sserwadda yagambye nti, okusaba kwategekeddwa ggwanga lyonna naye tewannabeerayo muntu mulala awa mbalirira okuggyako Bujingo n’agamba nti eyo nkola ye ng’omuntu naye si nkola ya kkanisa.
Omusumba Irene Manjeeri yagambye nti mu kusaba kwe baategese ku kkanisa ye empya eya Bethel Healing Center baakuη− ηaanyizza 40,000,000/-.