Summary
President Museveni has cautioned born again churches to desist from attacking and insulting other religions because this has caused conflict and disunity in the past. . He said that people should not be converted by force . He cautioned born again churches against burning shrines for ancestral worship.
Comment
There is nothing wrong with a biblical criticism of religious beliefs and practices in say the catholic church, however, the President is some how right when it comes to burning shines where ancestral worship is practiced. Some carnal Pentecostal faithfuls torch ancestral worship shrines without the consent of the witchdoctors especially during the night. This is wrong. However, there is nothing wrong with torching and ancestral worship shrine after getting the consent of a witchdoctor who has become born again.
Abalokole mukomye okuvumirira eddiini endala - Museveni
PULEZIDENTI Yoweri Museveni abuuliridde Bannayuganda obuteeyawulayawula olw’eddiini n’asaba abaagala okukyusa abantu babazze mu ddiini endala okwewala okutiisatiisa n’olulimi oluvvoola.
Museveni, ng’ayogerera mu kusaba kw’eggwanga okwetabiddwaamu n’abakungu okuva mu mawanga amalala ku Hotel Africana eggulo ku Lwokusatu, yagambye nti mu biseera ebiyise eddiini zaakola kinene nnyo okwawulayawula mu bantu n’agamba nti y’ensonga lwaki bwe yajja mu buyinza, yasookera ku magye n’aggyayo ebyeddiini.
Yalabudde Abalokole okukomya okuvvoola eddiini endala wabula bazisseemu ekitiibwa nga bwe baba baagala okukyusa abantu bakikole okuyita mu kubalaga ebyokulabirako mu bikolwa sso si kukozesa lyanyi n’okuvvoola, era wano kwe kulagira Dr. Joseph Serwadda (akulira Born Again Faith) naye eyabaddewo, okubunyisa enjiri eno.
Museveni yakoonye ne ku ky’Abalokole okwokya amasabo n’agamba nti bwe baba baagala okukyusa abasamize, babasikirize na bikolwa kasita baba nga tebamenye mateeka.
“Mu 1986, nga nnaakajja mu buyinza, waliwo abaali baagala mpere okusaba kw’omu biwempe ne ng’aana, naye kati abaali mu biwempe bazimbye amakanisa gaggadde,” Museveni bwe yayongeddeko.
Abalala abeetabye mu kusaba kuno mwe muli Katikkiro wa Uganda omuggya, Dr. Ruhakana Rugunda, abalamuzi, ababaka ba Palamenti, abakulembeze b’eddiini ab’enjawulo okuva wano ne mu mawanga amalala ne bannabyabufuzi bangi.
Mu kusooka, amyuka Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah, yasabye Bannayuganda okwebaza Museveni olw’okusaawo eddembe lya buli omu n’agamba nti y’ensonga lwaki y’omu ku bakulembeze abasinze okukulembera eggwanga lino ebbanga eppanvu.