‘Prophet’ Bushara followers await his resurrection
http://www.monitor.co.ug/News/National/-Prophet--Bushara-followers-await-his-resurrection/-/688334/2222126/-/ejy3aj/-/index.html
By Dan Wandera
Posted Wednesday, February 26 2014 at 02:00

In Summary
James Wazemba, a leader in Wilson Bushara’s church, claims he was taken away by angels and will return soon.
Nakaseke
Nakaseke
As hundreds of mourners converged at Bukoto village in Nakaseke District for the burial ceremony of the self-proclaimed prophet, Wilson Bushara, his followers spoke of how they hope their spiritual leader will miraculously rise from the grave.
‘Prophet’ James Wazemba, a co-founder of Bushara’s World Message Last Warning Church, told mourners on Monday that they expect a miracle. Mr Wazemba claimed that ‘Prophet’ Bushara was “not dead but has been taken away by the angels and will soon be back to accomplish the work they began”.
“The prophet is gone but we expect a miraculous rise from the grave because he is not dead,” ‘Prophet’ Wazemba said. He added: “We have faced persecution for the last 18 years but we were able to withstand the harsh environment. The persecution is a lesson to those who tried to destroy us that we are still around and will come out more powerful than we have been.” He said before the end of the year, the West and Arab World would come to Nakaseke “to witness the works of God in this place.”
Bushara drew national attention when he announced that he had a revelation that the world would end in September 1999. He later changed his statement.
Bushara was taken to Kiwoko Hospital last Thursday after his condition deteriorated. He has been fighting High Blood Pressure for a long time since his release from prison in 2002.
Pr Daniel Muhoozi denied claims that the prophet has been leaving a lavish life at the expense of his followers.

Bushara’s followers claimed that government agencies stopped them from establishing a Church at Bukoto when they reportedly persecuted Bushara and his followers in 1998. This was in the aftermath of his claim that the world would end on June 30,1999. Many of his followers sold off their properties, including plots of land in preparation for life in heaven.
Police dispersed the group, which had camped at Bukoto in Wakyato Sub-county on September 18,1999. Bushara faced charges of defilement in 2001 but the cases were later dismissed by a High Court judge due to lack of evidence. Bushara later re-emerged in 2011 at his home in Bokoto where the group reportedly started distributing ‘Last Supper’ invitation cards. Police later stopped the exercise.
Also see,
Uganda false prophet and cult reader Prophet Wilson Bushara, of World Message Last Warning Church, who proclaimed end of world in 1999, dies
Nabbi Bushara: Amenye likodi y’okuba omu ku bannabbi abasinze okuzza emisango
Bya MUWANDIISI WAFFE
NABBI Wilson Bushara amenye likodi! Y’omu ku ‘bannaddiini’ abafudde n’emisango emingi mu Uganda muno.
Okumanya Bushara abadde muka, olumu yaliko mu kifo eky’ekkumi ng’omumenyi w’amateeka asinga okwetaagibwa ennyo Poliisi ya Uganda.
Era mu July wa 2000 poliisi bwe yamugwako e Iganga gye yali yeekukumye, yali akyusizza n’erinnya nga yeetuumye Yosam Kataabe, nga ly’akozesa okukuba abakuumaddembe ekimmooni!
Oyo ye Bushara eyaziikiddwa eggulo. Abadde mutuuze ku kyalo Bukoto ekiri mu ggombolola y’e Kikamulo mu Disitulikiti y’e Nakaseke.
Yafiiridde mu ddwaaliro ly’e Kiwoko mu kiro ekyakeesezza olwa February 21, ng’amaze wiiki ssatu ku ndiri olwa puleesa.
Bwe yalangirira nti ensi egenda kuzikirira olwa June 30, 1999, era n’aguza abantu ebifo mu Ggulu yafuna abagoberezi ow’enjogerambi b’ayinza okuyita ebinyinyi!
Abantu baatundanga ebintu byabwe, ssente ne baziwaayo ewa Nabbi Bushara okugula ekifo mu Ggulu era ekkanisa ye eya World Message Last Warning Church n’eganja nnyo e Nakaseke, Luweero n’ebitundu ebiriraanyeewo.
Kyokka enkomerero y’ensi bw’etaabaawo mu June wa 1999, Poliisi n’ezinda olusiisira lwa Bushara e Bukoto- Nakaseke nga September 18, 1999.
Olwo ng’abantu batandise okwemulugunya nti mu lusiisira luno waliwo abantu abafa mu ngeri etategeerekeka, ate nga kimaze n’okuzuuka nti Bushara yali munywanyi wa Joseph Kibwetere, eyatta abagoberezi ba nga 1,000 mu March wa 1999.
JOSEPH Kibwetere eyali akulira eddiini ey’amateeka ekkumi yali munywanyi wa Nabbi Bushara, era nga beekubisaako n’ebifaananyi ebiwera.
Wabula Bushara kino yali akyegaana! Mu lusiisira lwa Bushara, abantu baali batandise okwemulugunya nti olusiisira lwa Bushara olwali lujjuddemu Abatuusi n’Abahima, Abalundi, Abatanzania n’abalala abanonyi b’obubudamu okuva e DR Congo, baali batandise okuwamba abantu nga babatta, abaana nga babasaddaaka n’okubasobyako.
Awali kkanisa ya Bushara, poliisi yasagawo entaana z’abantu nga 300 n’emirambo 24 egyali gitandise okuvunda!
Kyazuulibwa era nti Bushara ng’akwata abakazi, ng’atuma abagoberezi be ne babba ebintu by’abantu ye n’abyezza nti era ng’atandise okwetendekera eggye erirye erinaamukuuma! Ate ng’abasajja mu ddiini eno bakkirizibwa okwebaka ku bakazi ekirindi.
Bwe gyawunya (ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri), Bushara n’abagoberezi be abamu beeyambaza nga bamusundamata oba abakozi ba wooteeri ne babomba ekiwejjowejjo ng’ali Busia mu Buvanjuba bwa Uganda.
Bushara yalina abakazi mwenda, ng’omu ku bo muwala wa myaka 15!
OLUVANNYUMA lw’emyaka 10 ng’amaze okuwuddiisa abagoberezi be, Bushara yaddamu nate n’alagula nti ensi eneetera okukoma.
Olwo kwe kutandika okugaba kkaadi eri abagoberezi be ez’ekijjulo ekisembayo (last Supper), naye nga buli kkaadi ogigula 23,000/-!
Yategeeza abagoberezi be nti laddu n’ebimyanso bye tulaba kati biranga nkomerero ya nsi, n’ategeeza nti abanaagula kkaadi ezo bajja kutuuka mu Ggulu nga balamu, ate abanaagaana bajja kuvundira mu ggeyeena!
W’afiiridde ku myaka 56 ng’alina emisango mingi poliisi gye yamuggulako. Mu May wa 2013, kkooti yamusingisa ogw’okusobya ku mwana atanneetuuka, ne bamusiba e Luzira naye ate ne bamuyimbula!
EBYAFAAYO BYA BUSHARA
Mu kiwandiiko kye yafulumya gye buvuddeko Bushara yagamba nti yazaalibwa mu 1958 ku kyalo Muyenje ekiri mu bitundu by’e Bukomero mu Disitulikiti y’e Kiboga. Agamba nti yalokoka mu 1988 era n’atandika okubuulira enjiri mu Disitulikiti y’e Hoima mu 1991.
Agamba nti yafuna okulabiklirwa mu 1994 nga Katonda amugamba agende abuulire ensi ng’enkomerero bwe yali etuuka mu 1999.
Bwatyo mu January wa 1999 yayita abagoberezi be abaagenda ne bagumba mu maka ge e Bukoto gye baaberera ddala okutuusa mu September wa 1999 nga tebalina kye bakola ,wabula okusiiba nga basaba n’okuyimba.
Olw’okuba bangi ku bagoberezi baali beetunzeeko ebyabwe ng’ate baali tebakola, baatandika okubonabona mu by’endya n’ensula, naye nga tewali aseetuka- ssi kulwa nga banne bamuleka ne bagenda mu Ggulu!
AFUUKA BINOJJO
Wadde bye yalagula tebyatuukirira, Bushara eyasulanga mu kasiisira ak’omutego w’afiiridde nga y’omu ku bantu b’omu Nakaseke ssente be zibadde ziyitaba. Ng’oggyeeko ennyumba luvokwaya mw’abadde asula, Bushara abadde n’ebiraalo by’ente ne takisi.
‘Bushara y’abadde nnabbi asembayo’
WILSON Bushara yanaaba olweza ne lunnyikira! Obulamu bwe bwonna buli kimu abadde afuna kya ndola. W'afiiridde nga bagabirira mugabirire, abagoberezi be babadde bamukuumira mu bulamu bwa kikungu!
Wadde teyasoma kusukka P.4 era ng’abadde tayogera Lungereza, yasobola okukung’aanyiza ewuwe abagoberezi abasukka mu 1000 n'abatunza n'ebyabwe bwe yabamatiza ng'enkomerero y'ensi bwe yali etuuse.
Mu nkuyanja y'abagoberezi abaalekulira bye baaliko ne bajja beezinga ewa Bushara mwalimu n’abakozi mu maka g'obwapulezidenti, abavubuka aba diguli ne ba binojjo abaalina ebyabwe ng'amalundiro.
Yasobola okubamatiza bonna ne batunda ebyabwe, ate ssente ezaabivangamu n’azezza! kale eyali omwavu lucoolo ng'asula mu kasiisira, afudde y'omu ku bagagga b'omu Nakaseke!
Ng'ekkanisa ye Gavumenti tennagiwera, abagoberezi be baali bamugulidde mmotoka eya buyonjo mwe yalinga atambulira, mmotoka endala eya Kamunye eyamukoleranga ssente ne bamusondera n'ente mw'abaddenga anywa amata.
Bangi ku bagoberezi ba Bushara baasigala ttayo oluvannyuma lw'okwetundako ebyabwe ssente ne baziwa nabbi eyabasuubizanga okubafunira poloti mu ggulu, nga n'abamu abaalina ebiraalo by'ente baasigalira kupakasa mmimbi okusobola okwebezaawo.
Kyokka ne mu bwavu bwe balimu babaddenga batoola ku katono ke balina ne baleetera nabbi waabwe ekimu eky'ekkumi!
Kyokka wadde byonna biri biti, tewali mugoberezi we n’omu abadde amwogerako bubi, era bangi baazirise olw'obulumi bw'okufiirwa 'nabbi' gwe babadde boogerako ngaasembayo baibuli gw'eyogerako mu kitabo kya Kubikkulirwa 13.
Afudde yeekokkola bapaasita b’Abalokole b’agamba nti be baamulimirira mu Gavumenti ekyaviirako ekkanisa ye okuwerebwa. Amaze akabanga ng’akuutira abakulembeze abatali bamu amabaluwa nga yeegayirira ekkanisa ye eggulwewo, naye afudde kino tekisobose.
NABBI Wilson Bushara amenye likodi! Y’omu ku ‘bannaddiini’ abafudde n’emisango emingi mu Uganda muno.
Okumanya Bushara abadde muka, olumu yaliko mu kifo eky’ekkumi ng’omumenyi w’amateeka asinga okwetaagibwa ennyo Poliisi ya Uganda.
Era mu July wa 2000 poliisi bwe yamugwako e Iganga gye yali yeekukumye, yali akyusizza n’erinnya nga yeetuumye Yosam Kataabe, nga ly’akozesa okukuba abakuumaddembe ekimmooni!
Oyo ye Bushara eyaziikiddwa eggulo. Abadde mutuuze ku kyalo Bukoto ekiri mu ggombolola y’e Kikamulo mu Disitulikiti y’e Nakaseke.
Yafiiridde mu ddwaaliro ly’e Kiwoko mu kiro ekyakeesezza olwa February 21, ng’amaze wiiki ssatu ku ndiri olwa puleesa.
Nabbi Bushara babaddenga oluusi bamutambuliza ku ndogoyi.
Abasumba n’abeeyita bannabbi bangi mu Uganda, era bakozesa obukodyo bwonna okunyaga abantu. Wabula obwa Nabbi Bushara bwali bwagenda wala.Bwe yalangirira nti ensi egenda kuzikirira olwa June 30, 1999, era n’aguza abantu ebifo mu Ggulu yafuna abagoberezi ow’enjogerambi b’ayinza okuyita ebinyinyi!
Abantu baatundanga ebintu byabwe, ssente ne baziwaayo ewa Nabbi Bushara okugula ekifo mu Ggulu era ekkanisa ye eya World Message Last Warning Church n’eganja nnyo e Nakaseke, Luweero n’ebitundu ebiriraanyeewo.
Kyokka enkomerero y’ensi bw’etaabaawo mu June wa 1999, Poliisi n’ezinda olusiisira lwa Bushara e Bukoto- Nakaseke nga September 18, 1999.
Olwo ng’abantu batandise okwemulugunya nti mu lusiisira luno waliwo abantu abafa mu ngeri etategeerekeka, ate nga kimaze n’okuzuuka nti Bushara yali munywanyi wa Joseph Kibwetere, eyatta abagoberezi ba nga 1,000 mu March wa 1999.
Bushara abadde n'ekkanisa galikwoleka e Bukoto-Nakaseke
JOSEPH Kibwetere eyali akulira eddiini ey’amateeka ekkumi yali munywanyi wa Nabbi Bushara, era nga beekubisaako n’ebifaananyi ebiwera.
Wabula Bushara kino yali akyegaana! Mu lusiisira lwa Bushara, abantu baali batandise okwemulugunya nti olusiisira lwa Bushara olwali lujjuddemu Abatuusi n’Abahima, Abalundi, Abatanzania n’abalala abanonyi b’obubudamu okuva e DR Congo, baali batandise okuwamba abantu nga babatta, abaana nga babasaddaaka n’okubasobyako.
Awali kkanisa ya Bushara, poliisi yasagawo entaana z’abantu nga 300 n’emirambo 24 egyali gitandise okuvunda!
Bushara (wakati) nga poliisi emukutte n'abagoberezi be e Iganga mu 2000
Bushara yalina abakazi mwenda, ng’omu ku bo muwala wa myaka 15!Kyazuulibwa era nti Bushara ng’akwata abakazi, ng’atuma abagoberezi be ne babba ebintu by’abantu ye n’abyezza nti era ng’atandise okwetendekera eggye erirye erinaamukuuma! Ate ng’abasajja mu ddiini eno bakkirizibwa okwebaka ku bakazi ekirindi.