Eyeetita Paasita Kiwedde bamwongedde ekibonerezo ekirala
Bya JOHNBOSCO MULYOWA
PAASITA William Muwanguzi amanyiddwa nga Kiwedde ali ku kibonerezo ky’okusibwa emyaka ebiri olw’okweyita ky’atali, waakwevuma olunaku lwe yakwata ekkubo n’agenda e Masaka okufera abaayo.
Ku kibonerezo kino ayongeddwaako ekirala eky’okugezaako okutoloka mu kkomera lya Gavumenti e Kaliisizo mu Rakai.
Omulamuzi wa kkooti y’eddaala erisooka e Kaliisizo, Suzan Awid yamuwadde ekibonerezo ekirala kya kusibwa emyaka esatu ku musango gw’okugezaako okutoloka mu kkomera.
Omusango gw’okweyita Faaza n’afera Abakristu b’e Kaliisizo mu Rakai gwamusalirwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde.
Kati Kiwedde waakumala emyaka etaano mu kkomera ekkulu e Masaka.