AMAKA ga Paasita Stephen Senfuma ow’ekkanisa ya United Christian Centre e Makerere – Kikoni, gazzeemu ensasagge, abaana be bwe batabukidde nnyaabwe nga bamulumiriza okubamma ebintu bya kitaabwe ne baba ng’emmomboze.
Josephat Sseguya
Kigambibwa nti omugenzi yaleka ebyobugagga bingi era abantu ab’enjawulo bagamba nti ebyapa by’ettaka bisoba mu 70.
Kyokka mu lukiiko olwatuula gye buvuddeko, ebyapa 20 n’endagaano ssatu bye byayanjulwa, olwo abamu ku baana n’abooluganda ne balaga obutali bumativu.
Senfuma yafa COVID-19 mu June w’omwaka oguwedde n’aleka obugagga obuwuniikiriza nga kati bwe buvuddeko emberebezi wakati mu baana ne nnyaabwe.
Yaleka abaana munaana ng’abasatu bazaalibwa eyali mukyala we omukulu, Jane Nakku eyafiira mu kabenje. Abalala abataano ba Favour, Senfuma gwe yazzaawo.
Obuzibu we buvudde, be baana abakulu okutandika okwemulugunya ku nzirukanya y’ebintu bya kitaabwe nga bagamba nti si bamativu n’engeri maama waabwe omuto bw’abikutte.
Rebecca Mwesigwa Senfuma 28, eyasangiddwa mu Kampala eggulo, yategeezezza Bukedde nti kitaabwe yaleka obugagga obubalirirwa mu buwumbi omuli amayumba, ettaka, essomero, ekkanisa, emmotoka n’ebirala ebivaamu ssente kyokka ye na kati talina mulimu n’okwebeezaawo kumukaluubiriza.
Mwesigwa nga ye muwala wa Senfuma omukulu, yabadde ne kitaawe omuto, gwe bayita Samuel Sendyowa eyalemeddeko ng’agamba nti bwe yali tannafa, mukulu we Senfuma yabalumiriza bw’akoze ebintu ebingi kyokka ng’agamba nti byonna bibye, abaana be ne mukazi we ne yeewuunya engeri ate omukyala bw’alemwa okubigabanyiza obulungi abaana.
Mwesigwa agamba nti kitaawe yagattibwa ne Favour ku Full Gospel Church e Makerere mu 2007, ne kitegeeza nti ye nnamwandu mutuufu, era mu mateeka y’asooka okuweebwa omukisa ogw’okutambuza ensonga z’omugenzi.
Kyokka omuwala Mwesigwa alumiriza nti taata we yategeeza abagoberezi be mu kkanisa nga bw’alina ebyapa 40 ate n’abaako abalala b’agamba nti alina ebyapa 70.
Agamba nti bazze beemulugunya ku ngeri ebintu bya kitaabwe bwe bitambuzibwa okutuusa lwe baatuuzizza olukiiko okumanya bwe biyimiridde.
FFAMIRE ETUUZIZZA OLUKIIKO
Mu lukiiko olwatudde ku Lwomukaaga oluwedde ku Nyumbani e Makerere – Kikoni omwabadde maama waabwe, abaana abasatu n’abasumba b’ekkanisa, olukiiko lwategeezeddwa nti waliwo ebyapa 20 n’endagaano za poloti ssatu.
Samuel Sendyowa, muganda wa Senfuma.
Kino abaana baakiwakanyizza nga bagamba nti waliwo ebirala ebitaabanjuliddwa
kyokka nga n’ebyabanjuliddwa ate tebaabibalaze wabula okubasomera omuwendo nga tebalabye ku byapa ebyogerwako wadde endagaano.
Mwesigwa agamba nti omugatte gw’ebyobugagga ebyabasomeddwa guli nga gwa kawumbi kamu kyokka nga babalirira ebintu bya kitaabwe okuba mu buwumbi obusukka mu buna.
Baganda ba Mwesigwa abalala ye Esther Mirembe Ssozi ne Grace Mulungi nga nabo olukiiko baalubaddemu.
Abaana ba Favour tebaabadde mu lukiiko kubanga bato, omukulu wa myaka 12.
Mwesigwa yannyonnyodde nti bukya kitaabwe afa, bazze batuula mu nkiiko ez’enjawulo okusalawo ku bintu ebyo nga balemwa.
“Ekikyasinze okututabula y’engeri ezimu ku nkiiko ze twalimu maama n’atuyitiramu ku by’engabana y’ebintu. Olukiiko lwalimu ne looya wa ffamire ne tusomerwa ebintu ebyali mu kiwandiiko ekyandibadde nga ‘draft’ y’ekiraamo kya taata. Baatutegeeza
nti yali akola kiraamo kyokka yakoma ku kukiwandiika yali tannakissaako mukono.” Mwesigwa bwe yagambye.
(Ekiraamo kiteekwa okubaako omukono gw’omugenzi n’abajulizi abalala abatakka wansi w’ababiri. Asuubira okugabana ku by’omugenzi takkrizibwa kujulira kiraamo).
Mwesigwa agattako nti ekyasinga okubatabula kwe kubalaga nti bo ng’abaana ba Nakku, ekintu ekiri ng’ekyabaweebwa ge maka e Nansana agaali aga maama waabwe.
Mwesigwa era yasabye okumanya obwannannyini bw’essomero lya Stevour Christian High School erisangibwa e Kyamutakasa- Nakaseke obutuufu ye ly’amanyi nga erya kitaawe Senfuma.
Yagasseeko nti banoonyereza buli lukya ku by’obugagga bya kitaabwe kyokka erimu ku ttaka lye bazze bazuula, maama waabwe abagamba nti lya Stevour High.
Mwesigwa agamba nti mu lumu ku nkiiko lwe baalimu, Favour yabategeeza nti ebintu bingi yabikola ne bba era biri mu mannya gaabwe bombi ekitegeeza nti ebitundu 50 ku 100 bibye.
Agattako nti looya we mu lukiiko yabategeeza nti ye (Favour) okubawa ky’abawa, aba akikola bukozi mu mutima mulungi nga ‘good gesture’ ekitegeeza akabonero
akalungi eri abaana naye si tteeka.
Wano Mwesigwa ne banne we batabukira nga beewuunya nti taata waabwe eyalumirizanga nti akolerera mukyala we n’abaana be ate kijja kitya nti abaana abamu balinako busammambiro!
Bukedde afubye okwogerako ne Favour ku nsonga zino, kyokka buli mulundi essimu zombi ebbiri lwe zibadde zikwatibwa ng’olutandika okubuuza ekibuuzo nga zivaako.
Tekyasobose kutegeerekeka oba nga ddala ye yabadde azirina.