Pastor Kiwedde Netted Over Extortion
http://www.redpepper.co.ug/pastor-kiwedde-netted-over-extortion/
Pasita Kiwedde bamukutte afera b’e Kalisizo
PASITA Steven Muwanguzi amanyiddwa nga Kiwedde eyali Omusumba w’ekkanisa ya Holy Fire Ministries e Namulanda ku lwe Ntebe akwatiddwa poliisi e Kaliisizo mu Rakai lwa kwefuula Faaza n’anyaga mu bantu ensimbi.
Kiwedde yakwatiddwa ne munne Julius Mukasa nga babadde mu Nabisere Hotel mu kibuga Kaliisizo gye babadde bapangisa ekisenge mwe babadde beefuula abasabira abantu olwo ne babanyaga ensimbi ng’ekiwebwaayo era nga gwe babadde basabira babadde bamunyagako ensimbi eziva ku mitwalo ebbiri okudda waggulu.
Kiwedde e Kaliisizo abadde yeeyita Rev. Fr. Mwamba Lwazi ate munne abadde yeeyita Rev. Fr. Denis Mukasa nga babadde bagamba nti bava Kenya okujja okusomesa Kalisimatic.
Kino kibadde kyakatwaala ennaku bbiri zokka ng’abantu bagendayo okwefunira emikisa okuva eri bannaddiini bano era babadde bakeera ku bizindaalo bya leediyo Eddoboozi lya Kaliisizo ne beewaana nga bwe bali baakafulu mu kuvvumula abalwadde.
Omu ku batuuze e Kaliisizo ye yatutte ensonga eri Bafaaza mu kigo ky’e Matale-Kaliisizo ku beeyita Bafaaza bano oba ng’ekigo kibamanyi olw’okumuggyako ssente okumusabira era Bafaaza abakulembeddwaamu Rev .Fr. Sezaalio Muwonge ne Rev. Fr. Joseph Tamale ne beekubira enduulu ku poliisi e Kaliisizo nayo eyabakutte.
Kiwedde yagguddwako omusango gw’okweyita ky’atali ku fayiro SD: 20/09/11/2013 ku poliisi e Kaliisizo.
Also read:
Uganda’s Rogue Pastor, William Muwanguzi arrested: He has changed his names to Paul Mwamba and Started a church in Eldoret Kenya
Uganda’s Rogue Pastor, William Muwanguzi( Kiwedde) remanded to Luzira Prison
PASTOR MUWANGUZI SAYS HE WAS BORN WITH A BIBLE
Pastor Muwanguzi arrested with over 40 women panties in his car
Pastor Muwanguzi now uses SMS to con People